1 Chronicles 26:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo baava mu bazzukulu ba Obedi-Edomu. Bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe baali basajja abeesobola, nga basobola okuweereza. Abasibuka mu Obedi-Edomu baali nkaaga mu babiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abakugu mu kuweereza okwo; baali nkaaga mu babiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baali basibuka mu Obededomu, bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe nga basajja ab'amaanyi era abakozi b'emirimu. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe; abasajja ab'amaanyi abaamala okuweereza okwo; amakumi asatu mu babiri ab'oku Obededomu.