1 Chronicles 27:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luno lwe lukalala lw'Abayisirayeli abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abagabe b'enkumi, abagabe b'ebikumi, n'abakungu abaaweerezanga kabaka ku bidda ku bibinja bya magye nga biri mu mpalo zaabyo eza buli mwezi omwaka gwonna. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu ba Isiraeri bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna egy'omwaka, waabangawo ekibinja ky'abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, n'abakulira olukumi lukumi n'ekikumi kikumi mu magye, abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu Bayisirayeli bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna mu mwaka, waabangawo ekibinja kya basajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya, ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ng'omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky'empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy'omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.