1 Chronicles 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owoomunaana, mu mwezi ogwomunaana, ye Sibbekayi Omukusa mu Bayizuraki. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu mwezi ogw'omunaana, yali Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu omwezi ogw'omunaana, yali Sibbekaayi ow'e Huusa, asibuka mu Zera mu Kika kya Yuda. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera ye yali omwami ow'omunaana ow'omu mwezi ogw'omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.