1 Chronicles 27:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'ebika bya Yisirayeli: Ku lwa Rubeni: Eliyezeri mutabani wa Zikuri. Ku lwa Basimewoni: Sefatiya mutabani wa Maaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali: eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli; eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Isiraeri: ku ba Lewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli: ku Basimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Yisirayeli: eyali akulira Abarewubeeni, yali Eliyezeeri mutabani wa Zikuri. Sefatiya mutabani wa Maaka, ye yali akulira Abasimyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyoni Sefatiya mutabani wa Maaka: