1 Chronicles 27:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwa Yuda: Eliwu, omu ku baganda ba Dawudi. Ku lwa Yissakari: Omuri mutabani wa Mikayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi; eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriku, omu ku baganda ba kabaka Dawudi, ye yali akulira ekika kya Yuda: Omuli mutabani wa Mikayiri nga yakulira ekika kya Isakaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elihu muganda wa Kabaka Dawudi, ye yali akulira Ekika kya Yuda, Omuri mutabani wa Mikayeli nga ye akulira ekya Yissakaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri;