1 Chronicles 27:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwa bazzukulu ba Efurayimu: Ozeya mutabani wa Azaziya. Ku lw'ekitundu ekyokubiri ekya Manasse: Yoweli mutabani wa Pedaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya; eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akulira ab'ekika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya: nga n'akulira ekitundu ky'ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akulira Abeefurayimu yali Hoseya mutabani wa Azaziya, Yoweeli mutabani wa Pedaaya nga ye akulira ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky'ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya: