1 Chronicles 27:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi teyabala ba myaka makumi abiri oba abatannagiweza, kubanga Omukama yali asuubizza okwaza Yisirayeli okwenkana emmunyeenye z'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Kabaka Dawudi n'atabala muwendo gwa ab'emyaka abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ne baba bangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi teyabala abo ab'emyaka amakumi abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali asuubizza okufuula Abayisirayeli abangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Dawudi n'atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n'abatannaba kutuusa egyo, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ng'emmunyeenye ez'omu ggulu,