1 Chronicles 27:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu mutabani wa Zeruya yali asoose okubala, naye teyamaliriza, kubanga Yisirayeli yasunguwalirwa olw'ekyo, omuwendo kyeguva gutaweebwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya kabaka Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'atandika okubala abantu, naye n'atamaliriza: obusungu bwa Mukama kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo ogwabalibwa tegwaawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya kabaka Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu mutabani w'omukazi Zeruyiya, n'atandika okubala abantu, kyokka n'atamaliriza. Okubala kuno okw'abantu, ne kuleetera Mukama okusunguwalira Yisirayeli, era n'omuwendo ogwabalibwa tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya Kabaka Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu mutabani vva Zeruyiya yatanula okubala, naye n'atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.