1 Chronicles 27:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyakuliranga amawanika ga kabaka ye Azumaveti mutabani wa Adyeli. Go amawanika agaalinga eyo ebbali w'ekibuga, mu bibuga, mu byalo ne mu minaala, Yonatani mutabani wa Wuzziya ye yagakuliranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Azumavesi mutabani wa Adyeri ye yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya ye yali omukulu wa mawanika ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyalabiriranga amawanika ga kabaka ye Azumaveti mutabani wa Adiyeeli, ate eyalabiriranga amaterekero ag'omu nnimiro, n'ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, yali Yonataani mutabani wa Wuzziya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag'oku ttale n'ag'omu bibuga n'ag'omu byalo n'agomu bigo: