1 Chronicles 27:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakozi ab'omu byalo abaalimanga mu nnimiro Ezuri mutabani wa Kelubi nga y'abakulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakolanga emirimu egy'omu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezuri mutabani wa Kelubu, ye yakuliranga abo abaakolanga ogw'okulima mu nnimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakola emirimu egy'omu nnimiro olw'okulima ettaka: