1 Chronicles 27:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Siturayi ow'e Saroni nga y'avunaanyizibwa ku magana agaalundirwanga mu Saroni. Safati mutabani wa Kadulayi nga y'avunaanyizibwa ku nte ezaali mu biwonvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni, ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagana agaalundirwanga mu Saroni, gaalabirirwanga Situraayi ow'e Saroni. Safati mutabani wa Adulaayi, ye yalabiriranga amagana agaali mu biwonvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu: