1 Chronicles 27:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazizi Omwaguri nga y'avunaanyizibwa ku ndiga. Bonna abo be baali abaweereza abavunaanyizibwa ku bintu bya kabaka Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga. Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yazizi Omukaguli ye yali omukulu eyalabiriranga embuzi. Abo bonna be baali abakulu abaalabiriranga ebintu ebya kabaka Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga n'embuzi zaalabirirwanga Yaziizi. Abo bonna be baalabiriranga ebintu bya Kabaka Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w'embuzi. Abo bonna be baali abakulu b'ebintu ebya kabaka Dawudi.