1 Chronicles 27:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani kitaawe omuto owa Dawudi yali mubuulirizi, omusajja omugezi era omuwandiisi. Oyo ne Yekiyeli mutabani wa Kakumoni be balabiriranga batabani ba kabaka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi, ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muwi wa magezi mulungi, omusajja omutegeevu era nga munnyonnyozi wa mateeka. Ye ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni be baalabiriranga abaana ba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani kitaawe omuto owa Dawudi, yali muwi wa magezi, nga musajja mutegeevu era munnyonnyozi wa Mateeka. Ye ne Yehiyeedi mutabani wa Hakumooni, be baalabiriranga batabani ba kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n'abaana ba kabaka: