1 Chronicles 27:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akitofeli yasikirwa Yoyada mutabani wa Benaaya, ne Abiyatari. Yowabu ye yali omuduumizi w'eggye lya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi. Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahitofeeli bwe yavaawo, Abiyataari ne Yehoyaada mutabani wa Benaaya ne badda mu kifo kye. Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w'eggye lya kabaka.