1 Chronicles 27:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugabe owookusatu mu mwezi ogwokusatu yali Benaaya mutabani wa Yoyada kabona. Ye yali omukulu w'ekibinja kye; kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu: n'ab'omu luwalo olwo baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benaaya mutabani wa Yehoyaada kabona omukulu, ye yali omukulu w'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu. N'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye ow'omu mwezi ogw'okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.