1 Chronicles 27:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya oyo yali muzira ng'abalirwa mu makumi Asatu, era nga ye mukulu w'amakumi Asatu; ekibinja kye mutabani we Ammizabadi ye yali akikulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ye Benaya eyali omusajja ow'amaanyi omu ku asatu, era omukulu w'abo asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa mu luwalo lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ye Benaaya eyali omusajja ow'amaanyi, omu ku “Makumi Asatu” era omukulembeze waabwe. Ne Ammizabaali mutabani we yali wa mu luwalo lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow'amaanyi ow'oku abo amakumi asatu, era omukulu w'abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe.