1 Chronicles 27:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owookuna, mu mwezi ogwokuna, ye Asaweli muganda wa Yowabu; Zabadiya mutabani we ye yamuddirira. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze ow'okuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna, ne Zebadiya mutabani we ye yamuddirira: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aseheeli muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze owookuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna. Zebadiya mutabani we ye yamuddirira. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow'okuna ow'omu mwezi ogw'okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.