1 Chronicles 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owoomukaga mu mwezi ogwomukaaga Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa. N'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ira mutabani wa Ikesi Omutekowa ye yali omwami ow'omukaaga ow'omu mwezi ogw'omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.