1 Chronicles 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'akunga abakungu bonna mu Yisirayeli bakuŋŋaanire mu Yeruzaalemu: abakulu b'ebika, abakulu b'ebibinja ebyaweerezanga kabaka, abagabe b'enkumi, abagabe b'ebikumi, abaakuliranga ebintu n'amagana ga kabaka n'aga batabani be, abakungu b'omu lubiri, abatabaazi abazira n'abantu abalina obusobozi obw'enjawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakulu b'ebika, abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abawanika b'ebintu byonna eby'obugagga ebya kabaka, batabani be, wamu n'abaami n'abasajja bonna ab'amaanyi, era abazira e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi n'alagira abakungu bonna mu Yisirayeli okukuŋŋaana. Abakulu b'Ebika, n'abakulira ebitongole ebyaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi mu magye, n'abawanika b'ebyobugagga ebya kabaka, ne batabani be, wamu n'abaami, n'abaserikale bonna ab'amaanyi abazira, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakungu b'ebika n'abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, n'abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi n'abakulu b'ebintu byonna n'obugagga ebya kabaka ne batabani be, wamu n'abaami n'abasajja ab'amaanyi, abasajja bonna ab'amaanyi abazira, e Yerusaalemi.