1 Chronicles 28:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kati laba Omukama bw'akulonze, ozimbe ennyumba y'Ekitukuvu; nywera, otandike omulimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekigwa: ba n'amaanyi, okukikolanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kitegeere nga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'Essinzizo. Ba mumalirivu okikole.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekiggwa: ba n'amaanyi, okikolanga.