1 Chronicles 28:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ategeeza mutabani we Solomoni ekifaananyi ky'ekisasi ky'Ekiggwa n'ebigango byakyo, amaterekero gaakyo, ebisenge byayo ebya waggulu, ebisenge eby'omunda n'ekisenge ky'Entebe y'Obusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekifaananyi ky'Ennyumba ya Katonda, nga bweribeera: ekisasi kyakwo, n'ennyumba zaakwo, n'amawanika gaakwo, n'enju zaakwo eza waggulu n'ebisenge byakwo eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'awa Solomooni mutabani we ekifaananyi ky'Essinzizo nga bwe liribeera: ekisasi kyakwo n'ennyumba zaakwo n'amawanika gaakwo n'ebisenge byakwo eby'omu kalina, n'ebisenge byakwo ebyomunda, n'ekifo eky'entebe ey'obusaasizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky'ekisasi kya yeekaalu n'ennyumba zaako n'amawanika gaako n'enju zaako eza waggulu n'ebisenge byako eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira;