1 Chronicles 28:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamuwa ebifaananyi byonna Mwoyo bye yali amuwadde eby'enzimba y'empya z'Ekiggwa ky'Omukama n'ebisenge okwetooloola, eby'enkuluze y'Ekiggwa kya Katonda, n'eby'enkuluze z'ebintu byonna ebisingirwa Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yalina ku mwoyo, bye yali alowoozezza eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yali alowoozezza eby'empya z'Essinzizo, n'ebisenge byonna ebyetooloddewo, n'amawanika g'ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Katonda, era n'ago omuterekebwa ebintu ebimuwongerwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekyokulabirako ekya byonna bye yalina olw'omwoyo, eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa: