1 Chronicles 28:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamulaga engabanya ya bakabona n'Abaleevi n'omulimu gwonna ogw'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama, ne ku byonna ebyeyambisibwa mu kuweereza mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'amuwa n'entegeka zonna ez'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'amuwa entereeza yonna ey'empalo za bakabona n'Abaleevi n'ey'omulimu gwonna ogw'okuweereza mu Ssinzizo lya Mukama, n'ey'ebintu byonna ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eby'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebiweereza mu nnyumba ya Mukama: