1 Chronicles 28:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagereka obuzito bwa zaabu obwa buli kikozesebwa ekya zaabu mu kuweereza mu mikolo egitali gimu, n'obuzito bwa ffeeza owa buli kintu ekikozesebwa ekya ffeeza mu mikolo egitali gimu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'alagira obuzito bwa zaabu ne ffeeza epimibwa, obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu ogw'okuweereza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
obuzito bwa zaabu ne ffeeza obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
zaabu epimibwa olw'ebintu ebya zaabu, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna; ffeeza epimibwa olw'ebintu byonna ebya ffeeza, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna: