1 Chronicles 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obuzito bwa zaabu ku lw'ebikondo by'ettawaaza ebya zaabu n'ettawaaza zaakwo, obuzito bwa ffeeza ku lw'ebikondo ebya ffeeza n'ettawaaza zaakwo okusinziira ku mulimu gwa buli ttawaaza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obwettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obwettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo ogw'okuweereza okwa buli kikondo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obw'ettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obw'ettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eby'ettabaaza eza zaabu ebipimibwa, n'eby'ettabaaza zaakyo, zaabu epimibwa ya buli kikondo era ya etabaaza zaakyo: era ya bikondo ebya ffeeza, ffeeza epimibwa ya buli kikondo era ya ttabaaza zaakyo, ng'okuweereza okwa buli kikondo: