1 Chronicles 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'obuzito bwa zaabu omwereere ku lw'omwaliiro ogw'obubaani. Yamuwa ekifaananyi ky'ekigaali n'obuzito bwa zaabu waakwo ne ku lwa bakerubi abanjululizza ebiwaawatiro ku Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama okugibikka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'alagira n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu ekyoto eky'okwotereezaako obubaane; era n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu eggaali, eriko bakerubi abanjuluza ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu alutaari enyookerezebwako obubaane, n'ow'okukolamu ekigaali ekiriko abakerubi, abanjuluza ebiwaawaatiro byabwe okubikka Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ey'ekyoto eky'obubaane, zaabu ennongoofu eyapimibwa; era zaabu ya kyakulabirako eky'eggaali, be bakerubi abayanjala ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama.