1 Chronicles 28:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Bino byonna Omukama yabimbikkulira mu buwandiike, n'anteekako omukono gwe ntegeere bulungi ebifaananyi byabyo byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna, Dawudi, bye yayogera nabibategeeza nga biri mu buwandiike, era nga by'esigamiziddwa ku biragiro Mukama, yennyini bye yamulagira okutuukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi n'agamba nti: “Ebyo byonna biri mu ntegeka eyawandiikibwa nga yeesigamiziddwa ku biragiro ebyo, Mukama yennyini bye yandagira okutuukiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna, bwe yayogera Dawudi, nabitegeezebwa mu biwandiike ebiva eri omukono gwa Mukama, gye mirimu gyonna egy'omutindo guno.