1 Chronicles 28:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayimirira ku magulu ge n'agamba nti: “Baganda bange era abantu bange, mumpulirize: Neegomba okuzimba ennyumba y'Essanduuku y'Endagaano y'Omukama mw'eneewummulira, gwe muziziko gw'ebigere bya Katonda waffe, n'enzimba ne ngitereeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti, “Mumpulire, baganda bange era abantu bange; nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Dawudi n'ayimirira butengerera n'abagamba nti: “Muwulire baganda bange era abantu bange. Nayagala nnyo okuzimbira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Essinzizo mw'eneebeeranga, kibe ekifo Katonda waffe kw'ateeka ebigere bye, era nali ntegese okuzimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti Mumpulire, baganda bange era abantu bange: nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba.