1 Chronicles 28:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Dawudi n'agamba Solomoni mutabani we nti: “Guma, nywera. Omulimu gukole, totya, totekemuka, kubanga Mukama wange Katonda wange ali naawe; talikulekerera oba okukwabulira, okutuusa ng'omulimu gwonna ogw'ennyumba y'Omukama guwedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, okikolenga; totyanga so totekemukanga, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe; taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Solomooni mutabani we nti: “Guma omwoyo, obe mumalirivu, okole omulimu ogwo. Totyanga, era toterebukanga kubanga Mukama, Katonda gwe mpeereza, ali wamu naawe. Talikwabulira era talikulekerera, wabula anaabeeranga naawe n'akusobozesa okumaliriza omulimu gwonna ogw'okukola ku Ssinzizo lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Sulemaatu mutabani we nti Ba n'amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.