1 Chronicles 28:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Engabanya yiiyo eya bakabona n'Abaleevi ku lw'omulimu gwonna ogukwatagana n'Ekiggwa kya Katonda, na buli yenna omukugu mu buli mulimu aliba ayagadde okukuyamba; abakungu nabo n'abantu bonna balikola ky'olagira nga baagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, bakabona n'Abaleevi baweereddwa empalo olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era abakozi abakugu abamanyi okukola buli mulimu, weebali abeetegese okukuyamba; era n'abaami n'abantu bonna banaagonderanga ddala okulagira kwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona n'Abaleevi baabo bamaze okuweebwa emirimu gyonna gye banaakolanga mu Ssinzizo, nga bagikola mu mpalo. Abakozi abamanyi okukola buli mulimu weebali abeetegese okukuyamba, era abakulembeze n'abantu bonna banaagonderanga by'obalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, waliwo empalo za bakabona n'Abaleevi olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era waliba naawe mu mulimu ogw'engeri zonna buli musajja ayagala ku bubwe alina amagezi ag'okuweereza kwonna: era n'abaami n'abantu bonna banaagondereranga ddala okulagira kwo.