1 Chronicles 28:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Omukama yaŋŋamba nti: ‘Tojja kuzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli musajja mutabaazi, wayiwa omusaayi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda n'aŋŋamba nti,‘Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi mungi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda n'aŋŋamba nti: ‘Tonzimbira Ssinzizo, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi gw'abantu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda n'aŋŋamba nti Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja wa ntalo, era wayiwa omusaayi.