1 Chronicles 28:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama Katonda wa Yisirayeli yannonda mu nnyumba yonna eya kitange mbeere kabaka wa Yisirayeli emirembe gyonna. Yalonda Yuda abeere omukulembeze, ate mu nnyumba ya Yuda yalondamu nnyumba ya kitange, ate mu batabani ba kitange yalondamu nze, nga kwe kusiima kwe, mbeere kabaka wa Yisirayeli yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anzijja mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana bakitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Mukama Katonda wa Yisirayeli yalonda nze mu nnyumba ya kitange yonna, okuba Kabaka wa Yisirayeli emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okufuga. Mu nnyumba z'abasibuka mu Yuda, n'alonda ennyumba ya kitange, ate mu baana ba kitange, n'asiima nze okunfuula kabaka wa Yisirayeli yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anziya mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana ba kitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna: