1 Chronicles 28:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu baana bange – ate bo ddala Omukama yampa bangi - yalondamu mutabani wange Solomoni, ye y'aba atuula ku nnamulondo y'obwakabaka bw'Omukama ku Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne ku batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde abaana bangi, n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ampadde abaana bangi, era mu batabani bange bonna, n'alondamu Solomooni okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Yisirayeli, Ye Mukama yennyini bwe yateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku batabani bange bonna (kubanga Mukama ampadde abaana bangi) n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri.