1 Chronicles 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaŋŋamba nti: ‘Solomoni, mutabani wo y'alizimba ennyumba yange, n'empya zange, kubanga mmulonze abeere mwana wange, nange nzija kubeera kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange, kubanga nnamulonda okuba mutabani wange, nange n'abanga kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Solomooni mutabani wo ye alinzimbira Essinzizo n'empya zange, kubanga namulonda okuba Mutabani wange, nze mbenga kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange: kubanga namulonda okuba mutabani wange, nange naabanga kitaawe.