1 Chronicles 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwe ndibunyweza emirembe gyonna, bw'aliba anyweredde ku kukola bye ndagira n'ennamula yange nga bw'akyakola kaakati.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okugonderanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyikiranga okugondera amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okukola ebiragiro byange n'emisango gyange nga leero.

Recommended Reading