1 Chronicles 28:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kati mu maaso ga Yisirayeli n'ag'ekibiina ky'Omukama kyonna, nga Katonda waffe awulira, mbakuutira: mukwatenga era mugobererenga ebiragiro byonna eby'Omukama Katonda wammwe, lwe munaatwala ensi eno ennungi ne mugirekera ne batabani bammwe abalibaddirira ng'obusika bwabwe emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, Mukama gw'akkuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira, mukwatenga era mugonderenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi era mugirekere abaana bammwe, n'abanabaddiriranga okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno abantu bange, mu maaso ga Yisirayeli yenna Mukama gw'akuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira: mussengako omwoyo okugondera ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda wammwe, mulyoke musigale nga muli bannannyini nsi eno ennungi, mugirekere abaana bammwe n'abazzukulu abanaabaddiranga mu bigere, ebe yaabwe emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, ekkuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng'awulira, mukwatenga munoonyenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi mugirekere abaana bammwe okubala obusika emirembe gyonna abanaabangawo oluvannyuma lwammwe.