1 Chronicles 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe nno Solomoni mwana wange, manya Katonda wa kitaawo, muweereze n'omutima ogwemalizza n'omwoyo ogwagala, kubanga Omukama awenja emitima gyonna, era amanyi n'ebirowoozo byonna eby'emitima. Bw'oliba omunoonyezza, alikuwa n'omuzuula; naye bw'oliba omuvuddeko alikukasuka eri emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naawe Solomooni mwana wange, manya Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima gwo gwonna era nga weeyagalidde, kubanga Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu era ategeera byonna bye beegomba. Bw'onoomunoonyanga, anaakweraganga. Bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakugobanga emirembe gyonna.