1 Chronicles 29:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'ayogera eri ekibiina kyonna nti: “Mutabani wange Solomoni Katonda gwe yalonda akyali muto, tannakakata; omulimu gwe munene, anti olubiri luno terutegekerwa muntu naye Mukama Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti, “Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga ennyumba egenda okuzimbibwa si ya bantu naye ya Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi Kabaka, n'agamba abaali bakuŋŋaanidde awo nti: “Solomooni mutabani wange Katonda gwe yeelondedde, akyali mwana muto, ate ng'omulimu munene, kubanga luno si lubiri lwa bantu, naye Ssinzizo lya Mukama, Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga eriyumba si lya bantu naye lya Mukama Katonda.