1 Chronicles 29:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, obukulu bubwo n'obuyinza, ekitiibwa, ettendo n'okutangalijja, anti byonna mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, ayi Mukama, byonna obisooloobyeko ng'omutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi bibyo; obwakabaka bubwo, ayi Mukama, era ogulumizibwa okuba Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ggwe nnannyini bukulu n'obuyinza n'ekitiibwa n'obuwanguzi era n'okugulumizibwa, kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, bibyo, ayi Mukama. Ggwe Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi (bibyo); obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna.