1 Chronicles 29:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga n'ekitiibwa bisibuka mu ggwe, ggwe ofuga byonna. Mu mikono gyo mwe muli amaanyi n'obuzira, gye giwa bonna obukulu n'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ogaba obugagga n'ekitiibwa. Ggwe w'amaanyi n'obuyinza afuga byonna, era ggwe owa bonna obukulu era n'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi.