1 Chronicles 29:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze ani, n'abantu bange be baani, okusobola okukuwa kyeyagalire bwe tuti? Byonna biva gy'oli, tukuwadde ebivudde mu mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? Kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye nze n'abantu bange tetuliiko kye tuyinza kugamba nti ddala ffe tukiwadde, kubanga byonna bye tulina, ggwe obituwa, era ku bibyo by'otuwa, kwe tutodde ne tukutonera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo.