1 Chronicles 29:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso go tuli bagwira, basenze nga bajjajjaffe bonna bwe baali; ennaku zaffe ku nsi ziringa kisiikirize, omutali ssuubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so si za lubeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okimanyi ayi Mukama nti obulamu buno tubuyitamu nga bagenyi era batambuze, era nga bajjajjaffe bonna bwe baali. Ennaku zaffe ez'oku nsi ziyita nga kisiikirize, si za lubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so tewali kubeerera.