1 Chronicles 29:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Katonda wange, ebintu bino byonna akafukunya bye tutegese okuzimbira erinnya lyo ettukuvu ekiggwa, byonna biva mu mikono gyo era byonna bibyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba enaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa biva mu mukono gwo, era byonna bibyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira Essinzizo erinaaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa, Ggwe wabituwa era byonna bibyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba olw'erinnya lyo ettukuvu biva mu mukono gwo, era byonna bibyo.