1 Chronicles 29:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda wange, mmanyi nti ggwe owenja emitima, era osanyukira obutuufu; nange nno nkuweerezza bino byonna kyeyagalire n'omutima omuluŋŋamu. Ntunuulidde n'essanyu abantu bo bonna abali wano nga bakuwa kyeyagalire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okebera mutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mmanyi, ayi Katonda wange, ng'ogeza omutima gw'omuntu, era osanyukira omuntu agoberera amazima. Nze nga nnina omutima ogutaliimu bukuusa, mpaddeyo ebintu bino byonna nga neeyagaridde, era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo gy'oli nga beeyagalidde, ne nsanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okema omutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka.