1 Chronicles 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, okwagala kuno kukuume mu mitima gyabwe emirembe gyonna, n'emitima gyabwe giwe okusigala nga gikugondera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, kuumanga bulijjo endowooza efaanana bw'etyo mu bantu bo, era kuumanga emitima gyabwe nga gikunywereddeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli: