1 Chronicles 29:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mutabani wange Solomoni muwe omutima ogwemalizza ku kukwatanga ebiragiro byo, empisa n'amateeka go; byonna abikole, azimbe olubiri lwe ntegekedde bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ow'e Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba eno gye ntegekedde ebintu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era owe mutabani wange Solomooni omutima ogweweerayo ddala okukwatanga amateeka go ne byonna by'olagira ne by'okuutira, n'okuzimba Essinzizo lye ntegekedde ebintu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era owe Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba gye ntegekedde ebintu.