1 Chronicles 29:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neeyamba byonna bye nnina ne ntegeka eby'okuzimbisa Ekiggwa kya Katonda wange: zaabu ow'okugendera ku bya zaabu, ffeeza ow'okugenda ku bya ffeeza, ekikomo eky'okukola eby'ekikomo, ekyuma eky'okukola eby'ekyuma, emiti ku lw'ebikolwa mu miti, amayinja oniki ag'okujjuzaamu, obuggyo obwa langi entobeke, amayinja gonna ag'omuwendo ne maabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu ey'ebintu ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, ebikomo ne byuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde nfuba nga bwe nsobola okutegeka ebintu byonna eby'okuzimbisa Essinzizo lya Katonda wange: zaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, emiti, amayinja ag'omuwendo, n'amayinja aganaatona, n'amayinja ag'okwola, n'amayinja amalala ag'omuwendo era amanyirivu ag'engeri zonna mangi ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu (ey'ebintu) ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, n'ebikomo eby'ebintu eby'ebikomo, ebyuma eby'ebintu eby'ebyuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo.