1 Chronicles 29:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'agamba abaali bakuŋŋaanye nti: “Mugulumize Omukama Katonda wammwe.” Bonna ne bagulumiza Omukama Katonda wa bajjajjaabwe; ne bakutama wansi, ne bavunnamira Katonda ne kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “ Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti, “Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe.” Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba abakuŋŋaanidde awo bonna nti: “Kaakano mutendereze Mukama Katonda wammwe.” Abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne batendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Ne bakutama emitwe gyabwe, ne bassaamu Mukama ekitiibwa era ne kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe. Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka.