1 Chronicles 29:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ne balya ne banywa mu maaso g'Omukama mu ssanyu eringi. Solomoni mutabani wa Dawudi ne bamufuula kabaka ogwokubiri, ne bamusiiga omuzigo mu maaso g'Omukama abeere omukulembeze ne Zadoki abeere kabona omukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogwokubiri, ne bamufukako amafuta okubafuganga mu linnya lya Mukama ne Zadoki okuba kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ne basanyuka nnyo ku lunaku olwo. Ne baddamu okulangirira Solomooni mutabani wa Dawudi okuba Kabaka, ne bamufukako omuzigo okubafuganga mu linnya lya Mukama, ne bagufuka ne ku Zaddooki okuba Kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baliira ne banywera mu maaso ga Mukama ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogw'okubiri, ne bamufukako amafuta eri Mukama okuba omulangira ne Zadoki okuba kabona.