1 Chronicles 29:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'atuula ku nnamulondo y'Omukama abeere kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe. Ebintu byamulamira ne Yisirayeli yenna n'amuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'agitebenkerako, Eggwanga lyonna erya Yisirayeli ne limugondera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera.